Olubereberye 1
1 Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. 2 Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi. 3 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu. 4 Katonda n'alaba nga kirungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikizza. 5 Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.